ESSAALA Z'ABAANA N'ABAVUBUKA (#6224)

Otenderezebwe Ggwe, Ayi Mukama Katonda wange! Ku lw'ekisa Kyo okkirize omuwere ono ayonsebwe okuva ku bbeere ly’okusaasira Kwo okuboolerevu era akuzibwe nga aliisibwa n’ekibala ky'emiti Gyo egy’omu ggulu.  Tomuganya kwewaayo akuumibwe omulala yenna wabula Ggwe, kubanga ddala Ggwe, Mwene, mu buyinza bw’okwagala Kwo okw’obwannamunigina wamutonda era n’okumuwa obulamu.  Tewali Katonda mulala wabula Ggwe, Ayinza-byonna, Amanyi-byonna.
Oweebwe Ekitiibwa, Ayi Muganzi wange; omufuuweko obuwoowo obulungi obw'ekisa Kyo ekitenkanika, era n'obuloosa bw’ebirabo byo ebitukuvu.  Bwotyo omusobozese okunoonya obubudamo wansi w'ekisiikirize ky'Erinnya Lyo Erisinga Okugulumizibwa, Ayi Ggwe awaniridde mu ngalo Zo obwakabaka bw’amannya n’obubonero.  Ddaladdala, Ggwe olina obuyinza okukola ekyo Ggwe ky’oyagala, era mu mazima, Ggwe Owoobuyinza, Agulumizibwa, Asonyiwa-ennaku zonna, Oweekisa, Omugabi, Omusaasizi.

-Bahá'u'lláh
-----------------------

ESSAALA Z'ABAANA N'ABAVUBUKA (#6225)

Ayi Ggwe Mukama asingira ddala ekitiibwa!  Ofuule omuzaana Wo ono omuto owoomukisa era omusanyufu; omufuule ayagalwa era asuusuutibwa ku mufuubeeto gw’obumu Bwo, era omukkirize okulega ku kikompe Kyo eky’okwagala bwatyo asobole okujjuzibwa ekinyegenyege n’okuwuniikirira era abunyise akaloosa akalungi ennyo.  
	Ggwe  Owaamaanyi era Owoobuyinza, era Ggwe Amanyi-byonna, Liisoddene.

-Bahá'u'lláh
-----------------------

ESSAALA Z'ABAANA N'ABAVUBUKA (#6226)

Ayi Ggwe Mukama atageraageranyizika!  Okkirize omwana ono ayonka akuzibwe ku bbeere ly'ekisa ky'okwagala Kwo, omukuumire mu kibaya ky’emirembe n'obukuumi Bwo era okkirize akuzibwe mu mikono gy’omukwano Gwo omuboolerevu.

-`Abdu'l-Bahá
-----------------------

ESSAALA Z'ABAANA N'ABAVUBUKA (#6227)

Ayi Katonda! Olere akawere kano mu kifuba ky’okwagala Kwo, era okawe amata agava mu bbeere ly'obugabirizi Bwo.  Olabirire ekimera kino ekito mu nnimiro y'ebimuli bya looza ey'okwagala Kwo era okibeere kikule nga kifukirirwa omukisa Gwo.

-`Abdu'l-Bahá
-----------------------

ESSAALA Z'ABAANA N'ABAVUBUKA (#6229)

Ayi Katonda!  Ogunjule abaana bano abato.  Abaana bano abato by’ebimera eby’omu nnimiro Yo, ebimuli eby'omu ttale Lyo, ebimuli bya looza eby’omu nnimiro Yo.  Okkirize enkuba Yo ebifukirire; okkirize Enjuba ey’Amazima ebaakire n’okwagala Kwo. 
	Okkirize empewo Yo ebazzeemu amaanyi bwebatyo basobole okubangulwa, bakule era bakulaakalune, era balabikire mu bubalagavu obusingira ddala.  Ggwe Mugabi!  Ggwe Alumirirwa-bonna.

-`Abdu'l-Bahá
-----------------------

ESSAALA Z'ABAANA N'ABAVUBUKA (#6230)

Ayi Ggwe Mukama ow'ekisa!  Abaana bano abato abalungi gye mirimu gy’engalo z’amaanyi Go, n’obubonero bwekitalo obwobukulu Bwo. 
	Ayi Katonda!  Okuume abaana bano abato, n’ekisa Kyo, obayambe bagunjulwe era obawe obusobozi bw’okuweereza abantu bonna mu nsi yonna.  Ayi Katonda!  Abaana bano abato maluulu, obakkirize okukuzibwa munda w’essonko ly'ekisa ky'okwagala Kwo. 
Ggwe Mugabirizi, Ayagala-byonna.

-`Abdu'l-Bahá
-----------------------

ESSAALA Z'ABAANA N'ABAVUBUKA (#6228)

Ayi Katonda, onnuŋŋamye, onkuume, onfuule ettaala eyaka era emmunyeenye etangalijja.  Ggwe Owaamaanyi, era Owoobuyinza.

-`Abdu'l-Bahá
-----------------------

ESSAALA Z'ABAANA N'ABAVUBUKA (#6231)

Ayi Mukama wange!  Ayi Mukama wange!  Ndi mwana ow'emyaka emito.  Onnyonseze ku bbeere ly'okusaasira Kwo, ontendekere mu kifuba ky'okwagala Kwo, oŋŋunjulire mu ssomero ly'okuluŋŋamizibwa Kwo era onkulize wansi w'ekisiikirize ky'omukisa Gwo.  Onnunule okuva mu kizikiza, onfuule ekitangaala ekyamaanyi; onsumulule okuva mu buyinike, onfuule ekimuli eky'omu nnimiro y’ebimuli bya looza; onzikirize nfuuke omuddu w’omufuubeeto Gwo era onnaanike empisa n’embeera ey’abatuukirivu; onfuule ensulo y’omukisa eri abantu b’omu nsi bonna era otikke ku mutwe gwange engule ey'obulamu obutaggwaawo.  
Ddaladdala Ggwe Owoobuyinza, Owaamaanyi, Liisoddene, Awulira.

-`Abdu'l-Bahá
-----------------------

